وَاِنِّيْ لَغَفَّارٌ لِّمَنْ تَابَ وَاٰمَنَ وَعَمِلَ صَالِحًا ثُمَّ اهْتَدٰى
wa innī lagaffārul liman tāba wa āmana wa ‘amila ṣāliḥan ṡummahtadā.
Era ddala, Nsonyiwa abo abenenya, abakkiriza era nebakola ebikolwa ebirungi, olwo ne basigala nga balungamizibwa.
رَبُّ السَّمٰوٰتِ وَالْاَرْضِ وَمَا بَيْنَهُمَا الْعَزِيْزُ الْغَفَّارُ
rabbus-samāwāti wal-arḍi wa mā bainahumal-‘azīzul-gaffār(u).
(kwe kugamba) Mukama w’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wabyo, Ow’amaanyi ennyo, Omusonyiyi ennyo.”
۞ قُلْ يٰعِبَادِيَ الَّذِيْنَ اَسْرَفُوْا عَلٰٓى اَنْفُسِهِمْ لَا تَقْنَطُوْا مِنْ رَّحْمَةِ اللّٰهِ ۗاِنَّ اللّٰهَ يَغْفِرُ الذُّنُوْبَ جَمِيْعًا ۗاِنَّهٗ هُوَ الْغَفُوْرُ الرَّحِيْمُ
qul yā ‘ibādiyal-lażīna asrafū ‘alā anfusihim lā taqnaṭū mir raḥmatillāh(i), innallāha yagfiruż-żunūba jamī‘ā(n), innahū huwal-gafūrur-raḥīm(u).
Gamba nti, "Abange abaddu bange abasukkulumye ku kkomo lyabwe! Temuggwaamu ssuubi olw'okusaasira kwa Allah. Mazima Allah asonyiwa buli muntu ebibi. Mazima ye Musonyiyi ennyo, Omusaasizi ennyo."
تَدْعُوْنَنِيْ لِاَكْفُرَ بِاللّٰهِ وَاُشْرِكَ بِهٖ مَا لَيْسَ لِيْ بِهٖ عِلْمٌ وَّاَنَا۠ اَدْعُوْكُمْ اِلَى الْعَزِيْزِ الْغَفَّارِ
tad‘ūnanī li'akfura billāhi wa usyrika bihī mā laisa lī bihī ‘ilmuw wa ana ad‘ūkum ilal-‘azīzil-gaffār(i).
(Lwaki) onkowoola obutakkiriza Allah n’okugatta abakolagana naye n’ekintu kye simanyiiko, newankubadde nga nkuyita (okukkiriza) Omuyinza w’ebintu byonna, Omusonyiyi ennyo?
فَقُلْتُ اسْتَغْفِرُوْا رَبَّكُمْ اِنَّهٗ كَانَ غَفَّارًاۙ
faqultustagfirū rabbakum innahū kāna gaffārā(n).
bwentyo ne mbagamba nti, “Musabe okusonyiyibwa okuva eri Mukama wammwe, Mazima ye musonyiyi ennyo, .